Romans 14:14-18

14 aMmanyi era nkakasiza ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kya muzizo ku bwakyo, wabula kya muzizo eri oyo akirowooza nga kya muzizo. 15 bKubanga obanga muganda wo anakuwala olw’ekyo ky’olya, oba tokyatambulira mu kwagala; tolyanga kintu kyonna ky’omanyi nga kinaakyamya omuntu oyo Kristo gwe yafiirira. 16 cEkirungi ekiri mu mmwe kireme okuvumibwa. 17 dKubanga obwakabaka bwa Katonda si kulya na kunywa, wabula butuukirivu na mirembe, na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu. 18 eKubanga aweereza Kristo mu ebyo asanyusa nnyo Katonda era asiimibwa abantu.

Copyright information for LugEEEE